Byajjibwa mu kitabo: Okulowooza nga kagezi munyu:
Engeri musanvu ezeyambisibwa bakakensa muzuula na
Aristotle, Leonardo Einstein, Edison nabalala byawandikibwa Michael
Michalko
"Wadde toli kagezi munyu oyinza okweyambisa engeri zino
ezabakakensa nga Aristotle oba Einstein okweyongera mukulowooza mungeri eyekikugu
osobole okugonza obulamu bwo obwo maaso".
Engeri zino omunaana ziyinza okuyamba okulowoza mungeri
enekuleetera amagoba mukumulungula ebikalubye. "Engeri zino zeyambisibwa
nnyo abavumbizi mu byafayo munsi yonna".
1. Tunulira ekizibu mungeri ezenjawulo olabe nti ofuna
amakubo nebwegaba gawukana kugabalala gomanyi okusobola okimulungula.
Leonardo da Vinci yazuula nti okufuna amagezi kukumulungula
ekizibu sooka ozuule engeri gyoyinza okutunulira mungeri ezenjawulo.
Yazuula nti omulundi ogusooka nga ofunye ekizibu obaamu kyekubiira mungeri
gyokitunulira mu. Naye bwoba nga addamu okukizimba mubwongo bwo kiba nga
kizibu kirara si kiri kyewasoose okulaba.
2. Kuba ekifananyi!
Einstein yatunulira nga ekizibu mungeri nyingi nga kwatadde
nokukuba ekifananyi alabire ddala wa aw'okumulungura. Era ye yazula nti
emiwendo nebigambo bikola kitono mukulowoza kwe singa aba nekifananyi.
3. Leeta amagoba! Ekimu ku kyotegerera ba
kagezi munyu kwekuba nti baleeta amagoba.
Thomas Edison yalina obwananyini ku migabo 1,093. Engeri
eyiye yali kakugaba katala buli omu gwakozesa naye yenyini nga abanekitundu
kyazanya mukulowooza ku kizibu ekiriwo. Mumusomo gwabanna sayansi 2,036
mubyafaayo , Dean Keith Simonton owa University ya California mu Davis yazuula
nti banasayansi bangi abakugu mu byafayo bazuula ebyamagezi bingi nnyo naye
ate n'ebilowoozo ebitaatuyamba. Naye singa batya okuzula ebyo ebitayumba
n'ebiloozo ebyatuyamba bwebatyo tebandibivumbudde.
4. Yunga ebipya byovumbudde ku birala. Yunga
ebirowooza ebifananyi nabuli kimu ekipya kyolina wadde nga oluusi biyinza
okulabika obulala.
Amateeka g'ensikirano gava ku mumonaaki omu eyagatta okubala
ne sayansi wa biology kale nga wadde byali tebirabika kufanagana.
5. Fanaganya ebirowoozo byo; Gezako okuganaganya
ebirowoozo ebitalabika kufanaganya oyinza okujjamu kyoyagala.
Da Vinci forced yafanaganya okuwuuma kw'ekidde nga kikubiddwa
ku nsamuka yamazzi nga ejjinja likasukiddwamu. Kino kyamuyamba okuzuula
nti eddoboozi litambula mungeri yamayengo nga agamazzi.
Samuel Morse yavumbula sitenseni zamaloboozi gesimu nga amaze kutunulira
sitenseni zendogoyi ezempaka.
6. Loworeza mubikontana.
Physicist Niels Bohr yazuula nti bwokwata ebikontana oba
ebyawuka bibiri obwongo bwo buyinza okutuuka mumutindo omulala mukulowooza.
Yazuula nti ekitangaala kiringa katundutundu ate era kiringa jjengo bwatyo
navumbula 'complimentarity' mu sayansi.
7. Yiga okwefananyiriza mukulowooza.
Aristotle yazuula nti okwefananyiriza ebitafanagana kabonero
ka kagezi munyu. Okugeza okwefananyiriza ennyanja n'okwagala.
8. Oluusi wesigame ku lukisakisa oba 'chansi'
Buli lwetugezako okukola ekintu nekigaana tukola ekirala
ekyokisooka mu kutetenkanya 'accident' oba ekintu ekigwawo obugwi.
Nemunsobi tukoleramu ekirungi singa tetutunula ku bubi bwa nsobi bwokka.
Ensobi byejja tunulira ekkubo mwewayise okkola ekyo wefumitirize kukubo eryo
ate olabe kyoyinza okukyusa. Tewebuuza lwaki ogudde wabula kiki kyokoze.
Byajjibwa mu kitabo:
Michalko,
Michael, Okulowooza nga omukugu: Engeri munaana ezeyambisibwa abakugu
mukulooza nga Aristotle, Leonardo, Einstein, Edison nabalala (Amakubo
amapya agokuyiga) nga bwebirabika okuva ku http://www.newhorizons.org/wwart_michalko1.html,
(June 15, 1999)
Bino byasooka kulabika mu THE FUTURIST, May 1998
Michael Michalko yemuwandiisi wekitabo
Thinkertoys
(ekitabo kya business nobutenkanya ), ThinkPak (A Brainstorming
Card Set), and Cracking Creativity: Ebyama bya bakugu mukulowooza
(Ten Speed Press, 1998).
"Engeri
Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo"
Study Guides and Strategies:
ekifo kino ku web kirabiriwa:
Joe
Landsberger © since 1996
Byavunulwa Francis Ssennoga
It is an educational
public service collaboratively maintained across institutional and national
boundaries, and revised on an on-going basis. Suggestions, comments, critiques,
etc. are warmly welcomed in the interest of helping learners worldwide.
Additional contributions and translations are warmly received.
Permission is granted to freely copy, adapt, print, and
distribute Study Guides in settings that benefit learners. No request to
link is necessary. Please link rather than copy content into web sites.
Joe's professional
and personal webpages